Ani akweŋŋanga Yesu ? | Worship prayer medley - ZABULI
Zabuli
0:00 / 0:00
Ani akweŋŋanga Yesu ? | Worship prayer medley - ZABULI
4 293 просмотра · 1 месяц назад
Zabuli
26,5 тыс. подписчиков
4 293 просмотра · 1 месяц назад
1.1 Samwiri 17:26
(1 Samuel 17:26)
Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, ‘Omuntu anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri anaakolebwa atya? Kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?’:
2 Ebyomumirembe 20:6
(2 Chronicles 20:6)
“Awo n'ayogera nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa bajjajja baffe, ggwe si ggwe Katonda ali mu ggulu? Era si ggwe afuga amakabaka gona ag'amawanga? Era mu mukono gwo mwe muli amaanyi n'obuyinzi, ne watabaawo ayinza okukugumira.’ ”
2. Abaruumi 8:31
(Romans 8:31)
“Kale tunaayogera ki ku bintu ebyo? Katonda bw'aba ku lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?
”3. Isaaya 50:8
(Isaiah 50:8)
“Oyo ampa obutuukirivu ali kumpi; ani anaawolereza nange? Ka tuyimirire wamu: ani alina omusango nange? Ka asembere gye ndi.”
4. Yosuwa 1:5
(Joshua 1:5)
“Tewaliba musajja anaayinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabanga naawe: siriikuleka era siriikwabulira.”
5. Zabuuli 68:1
(Psalm 68:1)
“Katonda agolokoke, abalabe be basaasaanyizibwe; n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge.”
6. Ekyamateeka 28:7
(Deuteronomy 28:7)
“Mukama anaakuleteranga abalabe bo abakugolokokerako okukubirwa mu maaso go: balifuluma okukulumba ng'abayita mu kkubo limu, ne baddukira mu maaso go ng'abayita mu makubo musanvu.”