LABA EBIRABO BYAFFE BINO | Joseph Lukyamuzi (MTO 79)
MTO SONGS
0:00 / 0:00
LABA EBIRABO BYAFFE BINO | Joseph Lukyamuzi (MTO 79)
3 099 просмотров · 1 г. назад
MTO SONGS
7,97 тыс. подписчиков
3 099 просмотров · 1 г. назад
Laba Ebirabo Byaffe Bino is a Luganda Catholic Offertory hymn by Joseph Lukyamuzi, commonly known as Laba Laba Ebirabo Byaffe. This song is usually sung during offertory time in Mass and found in the MTO hymn book on number 79 under Ez'Ebirabo (Offertory Hymns)
Ekidd.: Laba laba ebirabo byaffe bino
Omugaati n’evviini ebivudde mu ffe
Abaana bo, tubikutonera Taata bitwale
Wamma Mukama ebivudde mu ntuuyo z’abaana bo
Ggwe atalundira mpeera
Bye tukuweereza biibyo bitwale.
1. Ggwe Kitaffe Ddunda laba bwe tujja
N'ebirabo ebivudde mu ffe
Mu ntuuyo mu kutegana okwa buli ngeri
Mala gakkiriza olw'Omwana wo Yezu.
2. Tukwebaza Ggwe okukkiriza bino
Wewaawo byonna si birungi
Olw'obunafu bwaffe olw'ensobi eziyitiridde
Mala gakkiriza olw'Omwana wo Yezu.
3. Eno evviini n'omugaati ffe bye tuleese
N'omutima ogumenyese,
Ke kabonero akalabika ng'otuyamba era oli naffe
Mala gakkiriza olw'Omwana wo Yezu.
4. Ekirabo ekikulu kye tukuwa kati nga ffe abaana bo
Gye mitima n'okwagala kwaffe,
Mala gakkiriza olw'Omwana wo Yezu
Credits:
Composed by: Joseph Lukyamuzi
Accompaniments by:Nakibuuka Racheal
Video by: Nakibuuka Racheal
Voiced by: Nakibuuka Racheal
#catholichymns
#mtosongs
#ugandacatholicsongs
#offertorysong
#missa