Tukwaniriza ku Kalanzi Live | Amagezi Agakyusa Obulamu bwo
Kalanzi Live
0:00 / 0:00
Tukwaniriza ku Kalanzi Live | Amagezi Agakyusa Obulamu bwo
37 просмотров · 5 дн. назад
Kalanzi Live
24 подписчика
37 просмотров · 5 дн. назад
Omukutu guno gwatondebwawo okutuusa obubaka obukyusa obulamu eri abavubuka ba Uganda: abatalina mirimu, abasuubuzi abato abatalina bumanyirivu bumala kuddukanya bizinensi zaabwe, abamalirizza okusoma naye nga tebalaba webatandikira kwezimba, n'abo bonna abalina ebirowoozo ebirungi eby'okufuna ssente naye nga tebalina nsimbi za ntandikwa.
Nze Kalanzi Lawrence, abagoberezi gwebakazaako erya Professor Kalanzi Omusomesa w'eggwanga,Munnamawulire eyegulidde erinya mu kyasa kino, okukyusa obulamu bwa mufunampola, n'okumugya mu bwavu. Omulimu guno,ngukoledde emyaka egisoba mu 20,nga mpitira mu myaganya egy'enjawulo omuli radio ya 101.7 Mama FM (Radio Business Classes),,okutegeka emisomo gy'ebyenfuna mu bitundu (Community Business Trainings),n'okuwandiikayo ku bitabo eri abo abanyumirwa bwiino omuwandiike.Nnina n'obukugu mu kukola n'okuddukanya ebibiina by'obwegassi,omusingi mufunampola gweyetaaga enyo mu kwezimba. Ebirala ebinkwatako,ojja kubisanga mu mbozi zaffe ez'enjawulo ezijja.
Mubeere n'omukisa.