Ogwa Nantongo ne Nabukenya omulamuzi awadde olunaku lw’anaagusala
Akawungeezi
0:00 / 0:00
Ogwa Nantongo ne Nabukenya omulamuzi awadde olunaku lw’anaagusala
4 026 просмотров · 16 часов назад
Akawungeezi
817 тыс. подписчиков
4 026 просмотров · 16 часов назад
Omulamuzi Vicent Emmy Mugabo attadewo enaku z’omwezi nga 6 ogw’ekkumi n’ogumu okuwa ensala ye mu musango munna NRM Agnes Kirabo Nantongo gweyawawabira munna NUP Brenda Nabukenya n’akakiiko k’eby’okulonda ku kifo ky’omubaka omukyala owa district y’e Luwero ng’agamba nti baamubba. Omulamuzi y’omu waakuwa ensala ye mu musango omulala ogw’eby’okulonda munna NUP Esther nakawooya gweyawawabira munna NRM Sarah Najjuma n’akakiiko k’ebyokulonda ng’abavunaana naye okukumpanya obuwanguzi bwe ku kifo ky’omubaka omukyala owa Nakaseke. Mu kuwulira emisango gino olwaleero mu kooti enkulu ey’e Luwero enjuyi zombi zikanyizza nti tewajja kubaawo kudda mu kooti wabula buli ludda lwakuwaayo okwoozaako kwalwo mu buwandike olw’o balindiririe ensala y’omulamuzi.Herbert Kamoga abaddeyo mu kooti.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda