TCB UNCEASING PRAYER ALTER 17.09.2026 MIN AIDAH
The Chain Breakers-Ug
0:00 / 0:00
TCB UNCEASING PRAYER ALTER 17.09.2026 MIN AIDAH
1 просмотр · 4 дня назад
The Chain Breakers-Ug
99 подписчиков
1 просмотр · 4 дня назад
Tugenda kwegayilira Ku rwabasibe bona
1 Mu biro ebyo kabaka Kerode n'agolola emikono okukola obubi abamu ab'omu kkanisa.
2 N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.
3 Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez'emigaati egitazimbulukuswa.
4 Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
5 Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.
6 Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera.
7 Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa. Ebikorwa byabatume 12:1-7
1️⃣Tugenda kwegayilira Katonda arete obumu MU gwanga ryafe Uganda
21 bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22 Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; Yokana 17: 21-22